Omugenzi Abadde ayitibwa Virigo Nabukalu Kiwanuka
Yazaalibwa nga 16th April 1916
Bakadde be be baali: Omutaka Mwambala e Kyambazi Kyanamukaaka & Tekera Nakalema eyagalamizibwa e Serinya Kinddu.
Abadde muzzukulu wa katende e Mawokota mu kika ky,olugave.
Yasomera ko e Narozaari
Yafumbiriganwa ne munne Alex Salongo Kiwanuka mu bufumbo obutukuvu
Omukama yamuwa abaana bana
- Omugenzi Esther Nsomere Namugera
- Omugenzi Henry Kiwanuka
- Omukyala Wilbroad Namagembe Ssebuny
- Hon. Edward Kiwanuka Ssekandi.
Omukama yamuwa abazzukulu nakabirye ne nakasatwe (grand children, great grand children and great great grand children )
Yaffa obulwadde bwa lubyaamira ku Lwokutano nga taano omwezi og’wokutaano , ku saawa taano ez’ekiro. |